Amawulire

Omu akwatiddwa nga Katatumba asengulwa

Ali Mivule

February 19th, 2014

No comments

Katatumba suites

Omuntu omu y’akwatiddwa wakati mu kugoba abapangisa mu kizimbe ekikayanirwa omubaka wa Pakistan mu uganda  Bonny n’omuyindi Shumuk Mukesh.

Wabadde wakayita mbale nga kooti eddizza Katatumba ekizimbe kya  Katatumba  ekisangibwa ku luguudo colville  nate Mukesh Shukla afunye ekiragiro kya kooti ekirala ekikyediza

Omuduumizi wa poliisi ya CPS , Denis Namuwooza agamba akwatiddwa musirikale wa kampuni enkuumi ey’obwananyini akubye amasasi mu bbanga nga okuggala ekizimbe kugenda maaso.

Ono ategezezza nga bbo bwebaliwo okutuukiriza ekya kooti okufulumya Katatumba mu kizimbe kino okukiddiza omuyindi nanyini Shumuk Investments Shumuk Mukesh.

Mungeri yeemu akulira abapangisa ku kizimbe kino Mohammed Katanyoleeka agamba basazeewo obutaddamu kusasula ababiri bano ssente za Bupangisa okutuusa nga bamazewo enkaayana zaabwe.

Katatumba abadde mu kooti ebbanga eriwera nga avunaana shumuk kumutwalako kizimbe kye nga n’omuyindi agamba nti bino by’ebimu ku bintu byeyagula ku Katatumba omuli n’ekizimbe kino.