Amawulire
Olwenkya lunnaku lwabakyala
Bya Prosy Kisakye
Olunnaku olwenkya Uganda, egenda kwegatta ku nsi yonna okukua olunnaku lwabakyala.
Kati bbo ababaka ba palamenti abakyala basabye gavumenti eyongere ku ssente mu nsawo yabakyala, okwongera okubayamba naddala abo abakosebwa ennyo olwomuggalo gwa ssenyiga omukambwe covid-19.
Omulanga gukubiddwa omubaka omukyala owa distulikiti ye Kibale Noelin Balisemera ngagambye ti waliwo obwetaavu obwamangu, abakyala okubayamba okuzukusa business zaabwe, kubanga ezisinga zaali zasanyalala.
Agambye nti nabakyala abamu bali mu kabi, bayinza obutasobola okuzaayo abaana baabwe ku masomero.
Yye omubaka Asamo Grace, akirirra abantu abaliko obulemu mu Buvanjuba bwe gwanga, agambye nti gavumenti era esaanye eveeyo nentekateeka eyenjawulo, ngerubirirdde okuyamba abakyala abaliko obulemu.