Amawulire

Olwaleero yenssalessale wa paasipoota enkadde

Olwaleero yenssalessale wa paasipoota enkadde

Ivan Ssenabulya

April 4th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Olwaleero ennaku zomwezi ziri 4 April, omwaka 2022 nga lwerunnaku olusembayo eri banna-Uganda okukyusa passporta zaabwe enkadde okudda mu mpya eza East Africa, ezisomebwa ebyuma bi kalimagezi.

Okusinziira ku kitongole ekivunanyizibwa ku bantu abayingira nokufuluma egwanga, Directorate of Citizenship and Immigration Control (DICC) ono ye ssale ssale era tewagenda kuberawo kulanga kulala kwonna.

Bann-Uganda bokka abakomawo mu gwanga bebagenda okukirizibwa okukozesa passporta enkadde, naye abafuluma bonna batekeddwa okukozesa ezo empya, bwekinasukka olwleero nga 4 April 2022.

Timothy Atwiine ye mwogezi wa minisitule yensonga zomunda mu gwanga, etwala nekitongole ekikola ku ntambula yabantu.

Gavumenti ya Uganda, yatongoza passporta empya gyebatuuma E-passport mu mwaka gwa 2018 ngegula emitwalo gya silingi 25.