Amawulire
Olwaleero mattikira ga Mukama
Bya Ritah Kemigisa ne Shamim Nateebwa
Omukama wa Bunyoro-Kitara Solomon Gafabusa Iguru IV olwaleero, agenda kukuza emyaka 25th egyamattikira ge, oba Empango.
Omukama Gafabusa yatuzibwa ku ntebbe nga June 11, mu 1994 obwakabaka bwebwali, bwakakomezebwawo mu Uganda.
Emikolo gyempango kigenda kukwatibwa mu lubiri lwe e Karuziika mu district ye Hoima.
Eno omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni yasubirwa ngomugenyi omukulu.
Ate mungeri yeemu Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11, ayozayozezza Omukama wa Bunyoro Solomon Gafabusa Iguru 4th, okutuuka ku mattikira ge agemyaka 25.
Mu kiwandiiko ekifulumye Ssabasajja ayogedde omukama Kabalega ne Mwanga II, nagamba nti bakolerere annoy obwakabaka bwabwe, obwa Buganda nobukama okulwanirira obwetwaze.
Omutanda era agambye nti amanyi bulungi okusomozebwa aban-nyoro kwebasanga okukyusa embeera zabwe, obwavu nebirala, wabulanga basaanye okukola ennyo okubivunuka.