Amawulire

Olwaleero lunnaku lwabakyala ‘ababulijo’ mu byalo

Olwaleero lunnaku lwabakyala ‘ababulijo’ mu byalo

Ivan Ssenabulya

October 15th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ekitongole kyekibiina kyamawanga amagatte, UN Women bakubye omulanga nokujjukiza abakulembeze nti bateeke mu nkola ekyakanyizbwako mu ndagaano ye Maputo, okuteeka ssente 10% mu byobulimi, mu mbalirira zamawanga.

Buno bwebubaka, obujidde ku lunnaku lwaleero olwabakyala aba wansi oba International Day of the Rural Women.

Mu kiwandiiko, akulira ekitongole kino Sima Bahous, abakyala bangi abasanga okusomozebwa okwamanayi mu byensimbi nebalemererw nokukyusa obulamu bwabwe okubeera obulungi.

Wano mu Uganda abakyala 77% bebali mu mirimu gyokulima, wabulanga 27% bokka bebalina obwananyini ku ttaka.

Wano wasabidde nti gavumenti eyongere okusitula embeera zabakyala, basobole okuyitimusa emirimu gyabwe gyokulima.

Ebiralala agambye nti amateeka getagisa, aganayambako okuleeta tekinologiya eri abakyala mu bulimi.

Mu Uganda olunnaku luno luvugidde ku mubala, mu lunyanyimbe Food security amidst climate change: Building resilience for Rural Women