Amawulire

Olwaleero lunnaku lwa NRM

Olwaleero lunnaku lwa NRM

Ivan Ssenabulya

January 26th, 2022

No comments

Bya Christine Nakyeyune

Olunnaku olwaleero, emyaka giweze 36 ngegwanga liri wansi wobukulembeze bwekibiina kya National resistance movement olunnaku olumanyiddwa nga NRM Day.

Zaali ennaku zomwezi 26 mu January wa 1986, Ssabayekera Yoweri K. Museveni nakwata obuyinza, bweyasuula gavumenti eyali efuga mu budde obwo.

Kati emikolo gigenda kubeera ku kisaawe e Kololo nga givugidde ku mubala n’omulanga okukyusa ebyenfuna byegwanga.

Emikolo gino gigenda kukwatibwa wakati mu kugoberera ebiragiro byokwetangira okusasaana kwa ssenyiga omukambwe, ngabantu 600 bebayitiddwa, era omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni yasubirwa ngomugenzyi omukulu.

Minisita omubeezi avunanyizbwa ku kulondoola ebyefunfuna byegwanga Peter Ogwang akakasizza nti buli kimu kijiddwako engalo.