Amawulire

Olwaleero gemattikira g’Omukama Oyo aga 26

Olwaleero gemattikira g’Omukama Oyo aga 26

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukama wa Tooro, Oyo Nyimba Kabamba Iguru IV olwaleero awezezza emyaka 26 ngatudde ku Namulondo yabaja Jajja be.

Olwaleero gyemikolo gyamattikira, ejimanyiddwa nga Empango.

Omukama Oyo ye mukulembeze wennono, akyasinze obuto okutula ku Namulondoa, nga yattikirwa mu mwaka gwa 1995 ngalina emyaka 3 oluvanyuma lwokufa kwa Kitaawe Omukama Patrick Kaboyo Olimi.

Ku lunnaku Lowmukaaga baatongozza entekateeka yobukama, oba ekirooto kyebatuumye Kingdom’s Vision 2045 ku mubala socio-economic development, transformation and prosperity of the People and Kingdom of Tooro entekateeka egenda okuyitwamu okuleeta enkulakulana eri abantu ba Tooro.

Entekateeka eno yamyaka 5, ngessira balitadde ku buwangwa, enono, ebyobulambuzi, obutumbula ebyobulimi, okuwa abantu obukugu obwomutwe, okutumbula ebyobulamu nokulwanyisa mukenenya nebirala.

Bino byebyesigamizddwako okuletawo enkulakulaa eyanamaddala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *