Amawulire

Olunnaku lw’okunaaba mungalo lwankya

Olunnaku lw’okunaaba mungalo lwankya

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Minisitule y’obutonde bwensi namazzi, ekunze abantu okuddamu okunaaba mungalo ne sabuuni, okukuuma obuyonjo okwegobako endwadde ezisoboka.

Okusinziir ku alipoota eyafuluma, oluvanyuma lwokunonyereza okwkaolebwa abekitongole kya Twaweza Sauti za Wananchi bannYuganda bettanira nnyo okunaaba mu ngalo mu mwaka gwa 2020, wbaulanga wabaddewo okudiririra.

Ebibalo byalaga nti abantu 8, ku buli bantu 10 nga 83%, baali banaaba mungalo ne sabuuni, olwengiri yokwetangira ssenyiga omukambwe eyali ebanyikidde.

Martin Akonya, omukugu okuva mu minisitule yobutonde namazzi, agambye nti abantu basaanye okuttukiza okunaaba mungalo ate obubaka babutuse neku masomero mu baana bweganaaba gaguddewo.

Buno bwebubaka obukulembeddwamu olunnaku lwanga 15 Okitobba, olwokunaaba mungalo oba International Handwashing Day.

Olunnaku luno lwabangibwawo, okukunga abantu bamanye obukulu bw’okunaaba mungalo.