Amawulire

Olunnaku Lwa’gavumenti Ez’bitundu mu Buganda e Mawokota

Ivan Ssenabulya

May 20th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, agenda okulabikako eri Obuganda olwaleero, ngakulembeddemu okukuza olunnaku lwa Gavumenti ezebitundu mu bwakabaka bwa Buganda olukwatibwa buli ngennaku zomwezi 20th mu mwezi gwokutaano.

Emikolo gyomwaka guno gikwatoiddwa Butooro ku mbuga ye ssaza lye Mawokota.

Olunnaku luno lukuzibwa mu ssaza eribeera lyawangudde empaka zamasaza mu nsonga zenkulakulana nokwetekateeka obulungi, nga Mawokota ku mulundi guno yeyanwa mu masaza amalala akendo.

Minister webyamawulire mu bwakabaka bwa Buganda, Owek Noah Kiyimba alambuludde entekateeka nategeeza nti Omutanda asubirwa  mu Kalasa Mayanzi akwase omulimi asinga ekirabo kye nokujjako omukolo akawuuwo.

Kati abebitiibwa njolo abasubirwa ku mukolo guno ogwabangibwawo nekigendererrwa okunyweza obukulembeze mu bwakabaka okuviira ddala wansi ku magombolola namasaza.