Amawulire

Olunnaku Lwa’bamaama

Ivan Ssenabulya

May 14th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Minista omubeezi owe’kikula kyabantu nebyobuwangwa, Peace Mutuuzo awadde abakyala amagezi ku lunaku luno olwa’bamaama  okukola ennyo betengerere okweyimirizaayo nga tebesigamye ku baami okubasabiriza.

Ono agamba abakyala bagwana balekerawo okutunulira abaami nga ekyokuddamu kyabwe eri ebizibu byabwe byonna nobulamu bwabwe  wabula bakole nnyo bave mu bwassemugayaavu.

Minista Mutuuzo agamba gavumenti ng’eyita mu nkola zaayo okuli eya’bakyala okuwebwa ensimbi okweja mu bwavu neyabavubuka eya Youth Livelihood zirubiridde  bakyala okulaba nti bayitimuka.

Kati mungeri yeemu,  abantu bakubirizidwa bulijjo okuwagiranga ba maama nokubazangamu essubi okuba bafuula abomugaaso eri egwanga era abeyagaza.

Nga ayogerako Dermbe FM, akulira ekitongole kya Girls Forum International, Esther Namboka agambye nti ba maama basanga okusomozebwa kwamanyi okutandikira ddala mu maka, okukwasanganya emirimu nobuvunanyizibwa obwokukuza abaana abe’mpisa.

Nambooka gamba abakayala balina okuwebwa obukuggu nekitibwa, egwanga bwerinagenda mu maaso.