Amawulire

Olukiiko lwa KCCA n’aba Taxi lugudde butaka

Ali Mivule

January 3rd, 2014

No comments

Taxi drivers strike

Ab’ebyokwerinda okuva mu zi paaka za taxi ez’enjawulo  mu Kampala bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okulemesebwa okuyingira ekitebe kya KCCA ku city Hall okusisisnkana  omubaka wa presidnti mu kampala Mpimbaza Hashaka.

Bano bagamba baayitibwa  RDC Mpimbaza Hashaka okuteesa oluvanyuma lw’okwemulugunya ku b’akakiiko ka KCCA  ak’ekiseera abateekebwa mu paaka zino nti beyingiza mu mirimu gyabwe egy’ebyokwerinda.

Bano bagamba babadde balinze ensisisnkano eno okumalawo obutakkaanya buno wabula kikwasa ennaku okuba nga ate olukiiko lusaziddwamu.

Wabula ye omwogezi wa KCCA Peter Kawuju ategezezza nga bw’atamanyi ku lukungaana lwonna wakati wa KCCA n’abe eby’okwerinda bino nga balina kutuukirira Hashaka kubanga yavunanyizibwa ku kino.

Ono era asambazze ebyogerwa nti KCCA bweyateekayo ab’ebyokwerinda mu paaka zino nti bbo bavunanyizibwa ku nzirukanya ya paaka zino sso ssi byakwerinda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *