Amawulire

Olukiiko lwa KCCA lutesezza ku kubbula enguudo

Olukiiko lwa KCCA lutesezza ku kubbula enguudo

Ivan Ssenabulya

September 16th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ekitongole kya Kampala Capital City Authority baliko enguudo 3, zebagala zibbulwemu amannya okuli eryabadde akulira Obusodoxi mu Uganda Metropolitan Jonah Lwanga nomusubuzi Haji Bulaimu Muwanga Kibirige.

Mu lukiiko olutudde, abakiise bagambye nti tekiibe kyabwenkanya okubbula oluguudo mu linnya lyomugenzo Lwanga atenga gweyaddira mu bigere Theodros Nankyama teyasimibwa mu mbeera yeemu.

Omuubiriza wolukiiko lwa KCCA Zahra Luyirika yalagidde ensonga zino zitwalibwe mu kakiiko akavunanyizobwa ku kutegekera ekibuga, era bakwanjula ebinaaba bitukiddwako mu lutuula olunaberawo nga 28 Sebutemba.

Enguudo ezitunuliddwa kuliko Wampewo Avenue bagala lutumibwe BMK okujjukira omusubuzi eyafudde wiiki ewedde.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *