Amawulire

Okwekebejja emirambo kutandise

Ali Mivule

September 25th, 2013

No comments

Kenya attacks

Gavumenti ya Kenya etandise okwekebejja emirambo gy’abatujju abattiddwa okuzuula ebibakwatako

Minista wa Kenya akola ku nsonag z’ebweru w’eggwanga, Olelenku agamba nti bagaala kukakasa n’okulaba oba ddala kuliko omukyala.

Ono agambye nti basooka kulaba ng’okutali mukyala kyokka nga yandiba nga kwaali

Mu ngeri yeemu President museveni yegasse ku bannakenya okukungubagira abantua battibwa abatujju abalumab ekizimbe kya Westgate shopping mall

Obulmbaganyi bino bwafiiriddemu abantu 62 n’okulumya abasoba mu 170

Obubaka bwa pulezident buzze nga Kenya egenda mu maaso n’okukuba nga olw’abattiddwa mu bulumbaganyi buno.