Amawulire

Okuwuliriza emisango gy’okujulira, egy’ebyokulonda kugenda kutandika

Okuwuliriza emisango gy’okujulira, egy’ebyokulonda kugenda kutandika

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2022

No comments

Ruth Anderah

Entekateeka z’okuwuliriza emisango gy’okujulira, egyebyokulonda egiwera 81 zigenda kutandika mu kooti ejjulirwamu.

Omuwandiisi wa kooti ejjulirwamu Susan Kanyange, agambye nti yakulembeddemu abawandiisi ba kooti abalala okuli Dr Alex Mushabe Karocho, Lillian Bucyana ne Henry Twinomuhwezi okulambika obudde nennaku ezokuwulirako emisango gino.

Kino mu lulimi lwamateeka bakiyita Conferencing, ngenjuuyi zombie bakanya ku nsonga ezimu omusango negulyoke guweebwa abalamuzi, okuguwulira.

Kanyange agambye nti bagala emisango gino gikanyizbweko, okutema empenda mu nnaku 21, olwo giryoke egitandike okuwulirwa.

Mu misango guno kuliko ogwa Julius Galisonga, ngawakanya ennamula ya kooti enkulu eyagoba omusango gwe mweyalia wakanyiriza obuwanguzi bwa Abdul Katuntu ngomubaka we Bugweri.

Joyce Bagala Ntwantwa naye awakanya, kooti enkulu eyamugoba mu palamenti mu musango ogwawaabwa minisita webyettaka Nabakooba Judith Nalule nemirala.