Amawulire

Okuwola abayizi ensimbi- abasoba mu 1000 bamaze okuyitamu

Ali Mivule

September 8th, 2014

No comments

Jessica Alupo

Abayizi  1269 bebakakasiddwa okuwolebwa ensimbi za gavumenti okweyongerayo okusoma mu matendekero agaawaggulu.

Abalenzi bali 986 nga bakola ebitundu  77.7%  sso nga abwala bali  283 by’ebitundu 22.3% .

Bbo abayizi 4 abalina obulemu ku mibiri gyaabwe bonna abaasabye, baakakasiddwa.

Bano balondeddwa okuva mu disitulikiti 108  wabula e Buvuma, Buliisa ne Nakapiripirit teri avuddeyo.

Abasinga ku bano baasaba amasomo agataliiyo sso nga abamu basasulibwa gavumenti.

Minisita w’ebyenjigiriza avunanyizibwa ku matendekero agawaggulu John Crizestom Muyingo ategezezza nga bwebenkanyizza ebitundu byonna kale nga tebasuubira kwemulugunya kuva eri Muntu yenna.

Obuwumbi 5 bwebwateekebwawo okutandika enteekateeka eno eri abayizi bonna muyunivasite  13.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *