Amawulire

Okuttibwa kw’empologoma: UWA etaddewo obukadde 10

Okuttibwa kw’empologoma: UWA etaddewo obukadde 10

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekitongole kyobutonde bwomu ttale, Uganda Wildlife Authority bataddewo obukadde 10, eri omuntu yanna anabawa amwulire aganabatuusa ku banatu abase eempologoma 6 wiiki ewedde.

Mu gandaalo lya ssabiiti,empologoma zino zasangiddwa nga nfu nga nebimu ku bitunu byazo byajiddwamu, nga bino byabadde mu kkumiro lyebisolo erya Queen Elizabeth National Park.

Mu kiwandiiko ekivudde mu kitongole kya UWA, omwogezi wakyo Bashir Hangi agambye nti ssente zino zakusiima oyo anaaba ayamabyeko mu kunonyereza kwabwe okugenda mu maaso.

Ono agambye nti obutonde bwe ttale busaanye okukumibwa kubanga bukola kinene nnyo mu byobulambuzi, era muvaamu ensimbi ezidda mu gwanika lye gwanga.

Kati abalina kyebamanyi, babatereddewo essimu, 0776800152 kwebayinza okukuba okubagliza kubekitongole.