Amawulire

Okutimba enkalala z’abalozi kutandise olwaleero

Okutimba enkalala z’abalozi kutandise olwaleero

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Olwaleero, akakiiko kebyokulonda kagenda kutandika okutimba enakalala zabalonzi mu disitulikiti 110, awagenda okubeera okulonda okwokudibwamu muzi gavumenti ezebitundu.

Kino kyadiridde akakiiko okufundikira entekateeka yokutereeza enkalala era mubitundu ebyo, okwatandika nga 22 okutukira ddala nga 26 Okitobba.

Okusinziira ku ssentebbe wakakiiko kebyokulonda, omulamuzi Simon Byabakama, okulaga enakalala kugenda kutandika olwaleero nga 8 Novemba, kwakuegnda mu maaso okutukira ddala nga 17 Novemba 2021.

Entekateeka eno bwenakomekerezebwa, yaakugobererwa okuwandiika abanavuganya ku bifo byobukulembeze mu bitundu ebyo, okuva nga 29 nenkeera waalwo nga 30 Novemba 2021.

Okwenja akalulu kwo kwakuberawo nga okumala ennaku 13, okuva nga 2 okutukira ddala nga 14 Decemba 2021.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *