Amawulire

Okutimba enkalala z’abalonzi kugenda kufundikirwa

Okutimba enkalala z’abalonzi kugenda kufundikirwa

Ivan Ssenabulya

November 15th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Akakiiko kebyokulonda, kagenda kufundikira entekateeka yokutimba enkalala zabalonzi, mu bifo awagenda okubeera okulonda okwokuddibwamu muzi gavumenti ezebitundu.

Entekateeka eno, egenda kufundikirwa ku lunnaku Lwokusattu nga 17 Novemba mu disitulikiti 110.

Entekateeka eno yatandika nga 8 Novemba oluvanyuma lwokutereeza enkalala, okwaliwo.

Akolanga omwogezi wakakiiko kebyokulonda Paul Bukenya akunze abalonzi, okukozesa ennaku ezisigaddeyo okukebera amannya gaabwe mu nkalala ezatimbiddwa.

Kati oluvanyuma lwokufundikira okutimba enkalala, akakiiko kebyokulonda kagenda kuwandiika nokussnsula abanavuganya ku bukulembeze, nga 29 nenkeera waalwo nga 30 Novemba 2021.

Kino nga kiwedde, abesimbyewo baakutandika okukuyega abalonzi, okuva nga 2 okutukira ddala nga 14 Decemba 2021.

Kuno kugenda kuberako okulonda ba kansala abakirira abaliko obulemu ngokulonda kujja kuberawo nga 15 Decemba 2021, okulonda ssentebbe wa disitulikiti ye Kayunga neba kanasala amu bitundu ebiralala, kujja kuberawo nga 16 Decemba 2021.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *