Amawulire

Okusunsula aba S1 ne S5 kutandika mwezi gujja

Okusunsula aba S1 ne S5 kutandika mwezi gujja

Ivan Ssenabulya

August 20th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Minisita avunanyizibwa ku byenjigiriza né byémizannyo Janet Museveni, ategezeza nga okusunsula abayizi abagenda mu siniya esooka ne yókutaano bwekugenda okutandika wakati wómwezi ogujja nogwe 10.

Bwabadde afulumya ebyava mu bigezo bya bayizi abatuula s6 omwaka oguwedde mu maka gomukulembeze weggwanga e Entebbe, Janet akakasiza nti omulimu gwokusunsula abayizi bano gutandika mwezi gujja, wabula nga tekitegeeza nti abayizi bano bakugenderawo ku masomero.

Ono agambye nti ennaku entuufu abayizi lwe balidira ku masomero lwakulangirirwa nga olukiiko lwa baminisita lumaze okukakasa olunaku kalenda eppya eye byensoma.