Amawulire

Okunonyereza ku Mubaka Zaake kutandika olwaleero

Okunonyereza ku Mubaka Zaake kutandika olwaleero

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2022

No comments

Bya Arthur Wadero

Akakiiko ka palamenti akamateeka era akakwasisa empisa, olwaleero kagenda kutandika okunonyereza kwako ku kamisona, omubaka wa munisipaali ye Mityana Francis Zaake ku bigambibwa nti yakakana ku amyuka sipiika Anita Among namuvuma okumwogoloza.

Akakiiko kano kakubirizibwa omubaka we Bugweri Abdu Katuntu, nga kagenda kufuna obujulizi okuva mu bantu naddala ababadde ku mwanjo, okulumiriza omubaka Zaake kwebyo byebamunenya.

Ensonga zino zaaletebwa mu palamenti, omubaka wa Bardege –Layibi, Martin Ojara Mapenduzi nga yemulugunya ku neyisa ya Zaake, bweyayita kigambibwa ku mitimbagano okuvuma Among.

Katuntu agambye nti bagenda kutandika ku ssaawa 5 nokuwliriza, obujulizi okuva ewa Martin Ojara Mapenduzi eyaleeta ekiteeso kino.

Oluvanyuma Zaake naye asubirwa nti ajja kweyanjula mu kakiiko kekamu, okuwulirizibwa.

Akakiiko kaweebwa wiiki 2 okuwuliriza ensonga zino.