Amawulire
Okulonda ssentebe wa Nebbi kwa kuwemmenta obuwumbi 757
Bya Benjamin Jumbe
Akakiiko k’eby’okulonda mu ggwanga lino kakusasanya obuwumbi bwa kuno 757 mu kulonda kwa disitulikiti y’eNebbi.
Bino by’asanguzidwa ssentebe w’akakiiko ke byokulonda Simon Byabakama bw’abadde alambika ebinagobererwa mu kulonda kwa Ssentebe wa disitulikiti wamu n’abakulembeze ababala mu disitulikiti y’eNebbi.
Mu kwogerako eri bannamawulire Byabakama ategezezza nga okusunsula abanesimbawo kwa kubeerawo nga12th ne13th June 2019 nga okulonda kwa kuberawo nga 11thJuly 2019.
Ekifo kya Ssentebe wa district ye Nebbi ky’asigala nga kikalu oluvanyuma lw’eyali ssentebe William Alenyo okuva mu bulamu bw’ensi eno mu mwezi ogwo 9 omwaka ogwagwa.