Amawulire

Okulonda kwa Sipiika: Aboludda oluvuganya tebayinza kuwnagula

Okulonda kwa Sipiika: Aboludda oluvuganya tebayinza kuwnagula

Ivan Ssenabulya

March 29th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ab’oludda oluvuganya gavumenti tebalina muykisa wonna okuwangula, ekifo kyomukubiriza wa palamenti.

Kino kyogeddwa omubaka wa Buikwe South omulonde, Dr Lulume Bayiga wakati mu bbugumu eryeyongedde ngokulonda kwa sipiika nomumyuka we kusembedde.

Bayiga, nga memba wa DP nga nabo basowoddeyo omuntu waabwe okuvuganya, agambye nti omuwendo gwaba NRM guli waggulu nnyo, nga kizbu eri abavuganya gavumenti okuyitawo.

Kati abantu 4 bebakavaayo okuvuganya ku kifo kino okuli sipiika Rebecca Kadaga nomumyuka we Jacob Oulanya nga baombi ba NRM, owa FDC Ssemujju Nganda nowa DP Richard Ssebamala