Amawulire

Okulonda e Butebo-Omu akwatiddwa

Ali Mivule

June 6th, 2013

No comments

voting on

Omuntu omu akwatiddwa ku somero lya  Kaima Primary school lwakulonda mulundi ogusukka mu gumu , mukulonda kwebutebo okugenda maaso.

.Akwatiddwa ategeerekese nga  Erick Odongo.

Ono akwatiddwa oluvanyuma lwakalabalaba wokulonda okumwekengera mnga kati Abaserikale ba polisi bangi abayiiriddwa wonna mu kitundu ky’e Butebo okukuuma emirembe

Mungeri yeemu abalonzi bakyaali bamuswaba nyo mu bitundu bye  Butebo, Kabwangasi and Kanginyima bwogeregeranya ne gombolola lye kakoro.

Abantu 6 be bavuganya ku kifo kino ekyalimu omugenzi Dr. Steven Malinga eyafa mu mwezi gwa April.