Amawulire

Okulinya kwébbeeyi yébintu kweyongedde

Okulinya kwébbeeyi yébintu kweyongedde

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2022

No comments

Bya Ndaye Moses,

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ekya Uganda Bureau of Statistics kitegeezezza nga bwekyeyongedde okufuna okulinya kwe bbeeyi yébintu oluvanyuma lwemiwendo gye bintu ebiekozesebwa mu bulamu obwabulijjo okweyongera okulinya

Okusinziira ku Commodity Price Index eyafulumizibwa mu mwezi gwa June 2022, ebbeeyi y’ebintu eri ku bitundu 6.8% okuva ku bitundu 6.3% nga bwekyali mu mwezi gwa May.

Dayirekita avunaanyizibwa ku bibalo by’ebyenfuna mu kitongole kino, Aliziki Kawundha agamba nti embeera eno evudde ku bbeeyi y’ebintu okulinnya.

Alaga nti ng’oggyeeko amafuta, ebimu ku bintu emiwendo gyabyo egyeyongedde okulinya kuliko kasooli, obuwunga bwa muwogo wamu n’ebijanjaalo.

Annyonnyola nti okulinnya kuno okw’ebbeeyi ye bintu kivirideko obwetaavu nókubulwa okweyongera.

Agattako nti ebimu ku bintu gavumenti by’ekozesa okukkakkanya ebbeeyi y’ebintu kwe kuba nti bbanka enkulu elinnyisa omuwendo gwa Bbanka Enkulu (CBR).