Amawulire
Okulamaga kw’omwaka guno e Namugongo
Bya Damalie Mukhaye
Olwaleero bwejiweze emyaka 54, okuva egwanga litandika okujaguza abajulizi ba Uganda abatibwa Ssekabaka Mwanga olwe ddiini ne Katonda waabwe.
Ebyafaayo biraga nti kuno kwaliko abenzikriza yaba-Anglican 23 nabakatuliki 22.
Bano batibwa wakati we nnaku z’omwezi 31 January 1885 ne 27 January 1887.
Kati zaali ennaku zomwezi 18th October nga Sunday 1964, abajulizi ba Uganda balangirirwa mu lubu lwabatukirivu era abesiimi papa Jphn Paul VI mu mmisa eyali ku kereziya ya St Peter’s Basilica mu kibuga ekitukuvu e Vatican.
Kati omwaka guno essaza lye Gulu nga bakulembeddwamu Ssabasumba John Baptist Odama bebakulembeddemu okusaba, wansi womubala “Obey God Always, and Everywhere ” oba gondera Katonda bulijjo era buli wamu.
Ate e Nakiyanja essaza lya Kiyinda Mityana, nabalala 4 begasse wamu okukuza olunnaku luno.
Abalamazi abasoba mu bukadde 4 bebasubirwa okwetaba mu kulamaga kwomwaka guno, e Namugongo.
Ate mungeri yeemu enguudo ezenjawulo ezolekera e Namugongo zigaddwa amakya gano, nga poliisi yebidduka bweyalambika, atenga nekifo kikwatiridde abantu.
Abasasi baffe bali mu bifo ebyenjawulo, okutubuliira embeera nga bwetambula na byonna ebiri e Namugondo.