Amawulire

Okukebera ssenyiga omukambwe: Ab’aloole bagala bisale ebyawamu

Okukebera ssenyiga omukambwe: Ab’aloole bagala bisale ebyawamu

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2022

No comments

Bya Musasi Waffe

Oluvanyuma lw’okuggulawo ensalo ye Katuna, abagoba bemmotoka zebyamaguzi basabye nti waberewo okukaanya ku bisale byokubakebera ssenyiga omukambwe.

Asuman Musa, omugoba wa lukululana munnansi wa Kenya atutegezezza nga bweyasasudde $ 5 ze silingi za Uganda 18,000 e Gatuna bweyabadde ava e Rwanda era bweyasaze okudda Katuna mu Uganda nebamusasauza $ 30 gyemitwalo 10 mu 8,000.

Agambye nti Uganda ne Rwanda mawanga ga memba mu mukago gwa East African Community, ga basobola okukaanya nebatekwo ebisale ebyawamu.

Yye Kyeyune Muyanja nga nay mugoba wa loole okuva e Kampala, ngatwala ebyamaguzi e Kigali-Rwanda agambye nti baamujjeeko emitwalo 10 okumukubera ssenyiga omukambwe e Katuna ate bwebamuwadde results nazitwala e Gatuna ku ludda lwa Rwanda tebamusabye wadde enusu.

Wabula akulira kampuni ya MAIA medical laboratories, abaweebwa omulimu kulwa minisitule yebyobulamu okukebera ssenyiga omukambwe e Katuna Peter Nkore abalina results za entuufu bayitawo okuyingira Uganda oba Rwanda naye abalina results za RDT oba Rapid balina okusasaula emitwalo 10 nebaddamu okubakebera.