Amawulire

Okujjukira okwekalakasa mu Buganda- aba DP bakukungubaga

Ali Mivule

September 8th, 2014

No comments

Buganda 4

Bamusaayi muto ba DP e Kayunga bategese okusaba okujjukira abaafira mu kwekalakaasa okwafumbekera ebitundu bya Buganda mu mwaka 2009.

Nga boogerako eri bannamawulire, abavubuka bano era basabye gavumenti okufulumya omuwendo gw’abantu abaafira mu kwelakaasa kuno

Basabye era ne ssabanyala baker Kimeze okwetonda olw’okuvaako okuyiwa omusaayi

Bino bbo bizze nga Kimeze yakajaguza nga bwegiweze emyaka 6 bukyanga yeerangirira ku bukulu kyokka nga kuluno pulezidenti Museveni yeetabye ku mikolo egireesewo endowooza nti gavumenti yanditongoza obunyala

Wano nno ku 90.4 Dembe FM, Twegatteko okuva olunaku lwaleero nga tukutuusaako ebyaliwo, abaakosebwa negyebali, kiki ekyavaako embetezi ku 90.4 Dembe FM.

Oli eyo nga Wakosebwa, tukubire ku ssimu yaffe ey’amawulire no. 0417-74-41-18 tukutuukeko

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *