Amawulire

Okugaba Ssente za NSSF kutandika nga 17 March

Okugaba Ssente za NSSF kutandika nga 17 March

Ivan Ssenabulya

March 7th, 2022

No comments

Bya Ndhaye Moses

Ssenkulu wekitavvu kyabakozi ekya National Social Security Fund (NSSF), Dr Richard Byarugaba alangiridde nti okutandika nga 17 March abakozi bageda kutandika okubawa ku ssente zaabwe, zebabadde baterekera obukadde.

Ategezezza bannamwulire nti abakozi akakadde 1 n’emitwalo 90 bwebagenda okuweebwa ku ssente zaabwe.

Kino kyajira mu tteeka eryayisbwa palamenti, ngabakozi abawezezza emyaka 45 baterekedde emyaka 10 basobola okuweebwa 20% ku ssente zaabwe.

Eri abaliko obulemu, batandikira ku myaka 40 nga bbo baakuweebwa 50% ku ssente zaabwe.

Kati abakozi abagwa mu kiti kino, batandise okutekayo okusaba kwabwe.