Amawulire

Okugaba amasanyalaze kukomyewo

Okugaba amasanyalaze kukomyewo

Ivan Ssenabulya

March 3rd, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Minisitule yamasanyalaze nobugagga obwomu ttaka, ezeemu netongoza e ntekateeka yokuzza abanatu ku masanyalaze eya Electricity Connections Policy gyebaali bayimiriza mu Decemba womwaka oguwedde 2020 olwe bbula lyensimbi.

Bwabadde ayogera ne bananamwulire mu Kampala, minisita wamasanyalaze Mary Gorret Kitutu agambye nti entekateeka eno eyamasalaze agobwerere arubirirdde okwongera okubunyisa amasanyalaze 60% omwaka gwa 2027 wegunatukira.

Asubizza nti omuwendo gwabanatu bebayunga ku masanyalaze, gwakwongerwanga buli mwaka okuva mitwalo 7 okutuuka ku mitwalo 30, nga kirambikiddwa nemu kirooto kye gwnaga ekyekyasa kyebatuuma vision 2040 goal nenkulakulana eyalambikibwa eya National Development Plan 3.

Kitutu agambye nti ekitpongole kya Rural Electrification Agency kiwereddwa ekkatala okutmbeeta nokuteeka polojekiti eno mu nkola.

Kti abantu abetumye abetaaga amasanuyalaze, bawera emitwalo 20, nga kireteddwa olwe bbula lyensimbi eribaddewo okuva entekateeka eno lweyayimirizibwa nga 7 Decemba 2020.