Amawulire

Okufa kwa Mutebile: Abadde Gavana wa Banka Enkulu

Okufa kwa Mutebile: Abadde Gavana wa Banka Enkulu

Ivan Ssenabulya

January 23rd, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Damalie Mukhaye

Omukulembeze wegwanga lya Kenya, Uhuru Kenyatta akungubagidde wamu ne Bank ya Uganda Enkulu, olwokufa kwa gavana Prof Emmanuel Mutebile asizza ogwenkomerero amakya ga leero.

Okusinziira ku bubaka bwa Kenyatta bwayisizza ku Twitter, abadde wankizo nnyo mu mirimu gyokutebenkeza ebyenfuna mu kitundu kyobuvanjuba bwa Africa awamu.

Mungeri yeemu gavana wa Banka Enkulu e Kenya, Patrick Njoroge agambye nti Mutebile ajja kujjukirwa olwemirimu gye ngakulembedde Bank ya Uganda mu kaseera akazibu ennyo.

Agambye nti yoomu ku bakulembedde Uganda okujigatta ku butale mu East African Community ngakwasisa enkola ezekitongole kya East African Monetary Union.

Mutebile yaliko ssentebbe wakakiiko akebyensimbi mu East Africa Community wakati womwaka gwa 2017 ne 2018.

Ono ye gavana akyasinze okuwangaala mu kifo ekyo, wabula asizza ogwenkomerero ku ssaawa 11 ne dakiika 30 mu kibuga Nairobi, mu ddwaliro gyabadde ajanjabibwa.

Afiridde ku myaka 72, Mutebile yaweebwa ekitanda mu dwaliro e Nairobi mu gwanga lya Kenya ku ntandikwa yomwezi guno, nga kigambibwa abadde nekirwadde kya ssukaali kyalanagana nakyo.