Amawulire

Okufa kwa Magufuli kulangiriddwa

Okufa kwa Magufuli kulangiriddwa

Ivan Ssenabulya

March 18th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze we gwanga lya Tanzania John Pombe Magufuli afaudde.

Magufuli afiridde mu ddwaliro mu kibuga Dar es Salaam, ngokufa kwe kulangiriddwa omumyuka we, ngasinzidde ku TV akawungeezi akayise.

Ono afiridde ku myaka 61 egyobukulu.

Omumyuka womukulembeze we gwanga Samia Suhulu Hassan agambye nti Magufuli afudde birwadde byamutima.

Magufuli abadde amaze wiiki 2 nga talabikako mu bantu, mu lujudde, nga wabaddewo amawulire agayitingana nti ali ku mugo gwantaana, nga nabamu bawanuuza nti ekirwadde kya ssenyiga omukambwe Covid-19, kyamubaka.

Magufuli yoomu ku bakulembeze ba Africa ababadde bawakanya coronavirus ngagamba nti taliiyo, era yalanagirirra nti yagwawo mu gwanga lye, wabula abadde akunga abantu okwesabira nokukozesa eddagala eryomuddo.

Kati ennaku 14 ez’okukungubaga zirangiriddwa mu gwanga lino, era bendera zigenda kwewubira, mu masekati ga mirongooti.

Okusinziira ku ssemateeka we gwnaga lya Tanzania, Samia Suhulu Hassan agnda kulayizibwa ngomukulembeze we gwanga, okuwereza emyaka ejisigaddeyo ku kisanja ekyemyaka 5 Magufuli kyabadde yakawangula, oluvanyuma lwokulonda okwaliwo omwaka oguwedde.

Ono agenda kuyingira mu byafaayo, ng’omukulembeze we gwanga omukyala asoose mu gwanga lino nemu East Africa awamu.

Kati obubaka obukungubaga, butandise okuyiika ngamazzi.

Ssabaminisita we gwanga lya Bungereza, Boris Johnson ye mukulembeze asoose okutuusa obubaka bwe obwokukungubaga eri abantu be gwanga lya Tanzania, ngayise ku Twitter.

Mgufuli abadde ajjukirwa nnyo olwobutaguminkiriza nguzi mu bukulembeze bwe, okuva mu Okitobba wa 2015 bweyalondebwa

Magufuli, era essanyu eri bannansi lyali lya kiyita mu lujja, kubnga bweyali yakalondebwa yatandika okunyigiriza amaloboozi agabanatu abatakirirza mu bukulembeze bwe.

Kati abakulembeze 2 wano mu East Africa, bebakafa ebirwadde ebyekuusa ku ssenyiga omukambwe, ngeyasooka ye Pierre Nkuruzinza eyali pulezidnti wa Burundi.

Bino byebimu ku bigambo bya Magufuli ebinamujjukirwnagako.

Ebimukwatako:

John Pombe Magufuli, yazalibwa omusajja owabulijjo, kitaaweyai mulimi.

Yazalibwa mu katundu ke Chato, mu mammbuka ge gwanga lya Tanzania, mu mwaka gwa 1959.

Yasoma Chemstry nokubala mu University of Dar es Salaam era yasooka kukola ngomusomesa wokubala era ne chemistry.

Yalondebwa ku kifo kyomubaka wa palamenti mu 1995 era nalondebwa ku kifo kya minisita mu 2000

Yalondebwa ngomukulembeze we gwanga lya Tanzania mu 2015.

Omwaka oguwedde 2020, abadde yakalondebwa ku kisanja ekyokubiri, wabulanga okulonda kuno kujukirwa olwengeri abavuganya gavumenti gyebanyigirizibwamu okubakwata nokubagalira nga nabamu wetwogerera bali mu buwanganguse.

Abadde ayogerwako, ngokulembeze akola ebitali byabulijjo.

Ono babadde bamukazaako erinnya erya “the bulldozer” okuva lweyakulemberamu polojekiti yokukola enguudo beyali minister webyentambula, songa era abadde amanyiddwa nnyo olwokulwanyisa enguzi.

‘Omwoyo gwomugenzi, Mukama agulamuze kisa’