Amawulire
Okubala ebisolo kutandise olwaleero
Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole kyebibalo mu gwanga, Uganda Bureau of Statistics olwaleero bagenda kutandika okubala amagana, okwetoloola egwanga lyonna.
Kati aba UBOS bakolaganye ne minisitule yebyobulimi, obuvubi nobulunzi mu ntekateeka eno, okusobola okukakasa omuwendo gwabyo omutuufu okubitegekera nokubiddukanya obulungi.
Okusinziira ku Edgar Mbahamiza, akulira ebyamawulire mu UBOS agambye nti okubala kwakukegenda mu maaso kukomekerezebwe nga 4 omwezi ogwomukaaga.
Ku ntandikwa y’omwezi guno, minisitule yayisa amateeka nebiragiro bitekeddwa okugobererwa mu kubala ebisolo kuno.
Abagenda okukulemberamu okubala, batekeddwa okwambala ebintu ebituufu okwekuuma oba Personal Protective Equipment (PPEs) okuli buutusi nebiralala.
Emipiira gyemmotoka zebanakozesa batekeddwa okusooka okugyooza, tebatekeddwa kusemberera bisolo okubikwatako nebiralala.
Entekateeka eno yali etegekeddwa okuberawo okuva nga 4 May okutukira ddala nga 28 May, wabula nebagyongezaayo.