Amawulire

Okubala abantu kwongezeddwayo

Ali Mivule

September 5th, 2014

No comments

Census

Okubala abantu kwongezeddwayo olunaku lumu okutuuka ku sande ya weeki eno.

Okubala kubadde kulina okukomekerezebwa olunaku lw’enkya nga 6.

Akulira entekateka z’okubala abantu Francis Mashate agambye nti kino kikoleddwa oluvanyuma lwabamu ku babala abantu okusaba bongezebweyo akadde okumaliririza ebitundu byabwe.

Mashate era agambye nti enkuba efudemba obutasalako ng’ekoseza ebitundu ebiwerako nayo ebaletedde okwongezayo okubala abantu.

Mu bitundu ebimu nga  Amuria ne Karamoja , amataba galemeseza ebabala abantu okukola omulimu gwabwe.