Amawulire

Ogwa Waninda ne banamawulire bagugobye

Ogwa Waninda ne banamawulire bagugobye

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Omulamuzi wa kooti enkulu Andrew Bashaija agobye omusango gwabanamawulire, mwebabadde bavunanira omumyuka womuwandiisi wa koti eyebyobusubuzi Fred Waninda okubakuba.

Omulamuzi agambye nti oludda oluwaabi lwalemereddwa okuleeta obujlizi obukakasa empaaba yaabwe nengeri eddembe lyabwe gyeryalinyirirwamu.

Hannington Kisakye ne Erc Yiga bebaddukira mu kooti nga bayita mu kibiina ekibagatta ekya Uganda Journaists Association.

Mu mpaaba yaabwe baali bagala baliyirirwe obukadde 150, ne Waninda okuliwa olwa camera zeyayonoona,

Omusango guno Waninda kibadde kigambibwa nti yguzza nga 24 April 2019 bwebali bagenze ku kooti, okugoberera omusango ogwenkayana ze ttaka ezirimu Waninda ono.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *