Amawulire

Ogwa Kajubi gw’ongezedwayo

Ogwa Kajubi gw’ongezedwayo

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2019

No comments

Ruth Anderah, Kooti ensukulumu ergidde omusubuzi we Masaka Godffrey Kato Kajubi,  ali mu kkomera e Luzira ku misango gyobutemu obwakolebwa ku mwana owemyak 12 Joseph Kasirye bweyamusadaaka nti, addeyo mu kkomera okutuusa lwanategezebwa olunnaku olutuufu olwokuwlirirako omusango gwe ogwokujulira.

Kajubi abadde ku mere e Luzira okuviir ddala mu 2012, wabula yaddukira mu kooti ensukulumu okuwakanya ennamula za kooti eza wani okuli kooti enkulu, ne kooti ejjulirwamu.

Olwaleero aleteddwa mu kooti wabula munamateeka we Shaban Sanywa tabaddeewo.

Abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu Dr. Esther Kisakye bebongezaayo omusango guno.