Amawulire

Ogwa Kajubi gwa mwezi guno

Ali Mivule

March 10th, 2014

No comments

kajubi

Kooti yakutandika okuwulira okujulira okwakolebwa Godfrey Kato Kajubi nga 31 omwezi guno

Kajubi yasingisibwa emisango gy;okusaddaka omwana ow’emyaka 12 Joseph Kasirye

Ono yasibwa mayisa omulamuzi Mikael Kibita eyaguli mu mitambo.

Kajubi nomusawo w’ekinnansi Umar Kateregga kko ne mukyala we Mariam Nabukeera basaddaako omwana ono  mu mwaka gwa 2008

Omulambo gwa Kasirye gwasangibwa mu gusuuliddwa mu kitoogo nga teguliiko mutwe n’ebitundu by’ekyama.

Kajubi yalli yejjerezebwa kyokka n’addamu okukwatibwa abalamuzi mu kkooti ejulirwaamu bwebaagira nti omusango guddemu okuwulirwa