Amawulire

obwayaaya bumusingidde omwanawe

Ali Mivule

April 6th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Poliisi  ekutte n’eggalira omukazi ng’emulanga kusuulawo mwana we n’agenda okukola obwayaaya.

Doreen Bako myaka 23nga mutuuze  we Katooke – Kisumu mu ggombolola ye Nabweru mu disitulikiti ye Wakiso, yakwatiddwa poliisi y’e Katooke ng’emuvunaana kusuulawo mutabani we, Savio Tati.

Kino Kiddiridde abatuuze okutemya ku poliisi nga Bako bwe yabasuulira omwana omulwadde nga taliiko buyambi, ekyabatiisizza nti ayinza okubafaako nga tebalina we batandikira Omwana abadde amaze emyezi ebiri nga talaba ku nnyina.

AIP Henry Mulengani, akulira poliisi ye Katooke ategeezezza nti omukwate akumibwa ku poliisi ye Kawempe gyagenda okugyibwa atwalibwe mu kkooti avunaanibwe nga omwana we ye atwaliddwa mudwaliro e Mulago gy’ajanjabibwa .

Omusango guli ku fayiro nnamba SD: 15/30/04/2017.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *