Amawulire

Obwakabaka buwakanyizza kkooti

Ali Mivule

June 6th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Obwakabaka bwa Buganda buveddeyo nebwanukula ensalawo y’omulamuzi Patricia Basaza, bano bategezza nga bwebagenda okusayo ekiwandiiko  nga bawakanya ensalawo yomulamuzi  Patricia Basaza eyasazewo nti Kabaka aweyo empapula ezinyonyola ku taaka lya Mailo  eri omuwabi r Male kiwanuka mabirizi.

Bw’abadde ayogerako eri  bannamawulire wali ku Bulange Mengo, Munnamateeka  wobwakabaka bwa Buganda Daudi  Mpanga I ategezezza nga bwebagenda okuwayo okusaba kwabwe eri kooti olunaku olw’enkya  nga bawakanya  esalawo eno kubanga  Kabaka alina eddembe eri ebyama bye era nga bakulikuma.

Mpanga  agamba omwami Male kiwanuka alina ebigendererwa bye bilala byakyaganye okwajula.

Olunaku lwajjo omulamuzi wa kooti enkulu Patricia Basaza yasewo nga alagira Kabaka okufulumya byona ebipapula bya bank ebye kitongole kya Buganda ekya Buganda Land Board eri Mabirizi eyatwala Kabaka mu kooti nga tewanayitta naku zomwezi 30 omwezi guno.