Amawulire

Obwakabaka bulaze embalirira ku masiro,bukungubagidde Mandela

Ali Mivule

December 9th, 2013

No comments

 Katikkiro mayiga at Kasubi

Obwakabaka bwa Buganda bulaze ensasaya ey’ensimbi ez’amasiro.

Mu kiseera kino ensimbi akawumbi  kamu n’obukadde 190 bwebyakasondebwa.

Ku buno obukadde 300 bumaze okusasanyizibwa mu kugula ebintu ebyeyambisibwa mu kuzimba buggwe.

Wabula ngawa ensasanya eno Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti waliwo cheque z’abukadde 5 ezabuuka ate ngawaliwo endala obukadde 5 ezadizibwa banyini bazo.

Katikiro era azamu okulabula abakozi b’obwakabaka obutetantala kubulankanya ensimbi zino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *