Amawulire

Obubaka bwa Ssabasajja Obwa’Eid

Ivan Ssenabulya

June 24th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Obumu nokwagalana byebisimbiddwako essira mu bubaka bwa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 obwa Eid eri abayisiraamu.

Omutanda agambye nti okwagalana kyekusumuluzo kyobutebenkevu nemirembe mu gwanga lyaffe, kalenga ku Eid eno abayisiraamu bagwana okukyefumintirizaako era okukissa mu nkola.

Binoculars by ebimu ku bigambo ebiri mu bubaka bwa Ssabasajja obwakaba, ngategezezza ngabasiramu mu kiseera bwebolesezza obumu nokwagalana era nasaba kino kireme koma mu kisibo, wabula embeera egende maaso.

Ategezezza nti  bwewabaawo okwagalana nenkolagana bokka na boka ejja kunywera olwo egende nemu madiini amalala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *