Amawulire

Obuyiiya mu kutereka ssente bubuno ‘WhatsApp Banking’

Obuyiiya mu kutereka ssente bubuno ‘WhatsApp Banking’

Ivan Ssenabulya

September 3rd, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

BannaYuganda basabiddwa okwettanira enkola eya whatsapp bankin, obuyiiya obujja obwaleteddwa mu byokutereka ssente okuyita ku mitimbagano.

Sarit Raja, akulira ebyensimbi n’emirimu mu kampuni ya I&M mu kitundu kyobuvanjuba bwa Africa, agambye nti kitundu kyomwaka 2021 eisoose wabaddewo okweyongera mu magoba okutuuka ku 33% okuva ku 12%.

Raja era awabudde bonna abali mu mulimu gwokutereka ssente, okwongeramu amaanyi nobuyiiya okutumbula omulimu.

WhatsApp banking nkola eya digito ngefananako ngokusindika obubaka bwa SMS, nga kaasitoma ayogerezeganya naba banka nga bakozesa ChatBot.