Amawulire

Obusanyi bwandikonya ebyenfuna

Ali Mivule

April 11th, 2017

No comments

 

Obusanyi obwongedde okusaasanira eggwanga lyonna bwandikosa ebyenfuna bya Uganda n’okusingira ddala eby’obulimi singa tewabaawo kikolebwa amangu ddala.

Minisita w’ebyobulimi Vincent Ssempijja agamba Uganda efulumya ttaani za kasooli obukadde 4 kumpi buli mwaka nga kyekilimi ekyokusatu Uganda kyelima mu bungi nga obusanyi bwandilyako metric tonnes 450000 kwekufiirwa obukadde bwa doola nga 192.

Mungeri yeemu n’abalimi basabiddwa okuloopera abebyobulimi ku disitulikiti singa obusanyi buno bulumba ennimiro zaabwe.

Mukiseera kino obusanyi buli mu disitulikiti 54 nga bwetaaga okukolebwako amangu ddala.

Minisita Ssempijja agamba baagala kufuuyira obusanyi buno balabe nda bulwawo okudda.