Amawulire

Obulwadde obutategerekeka busse 6

Ali Mivule

January 27th, 2014

No comments

Cholera new

Ekirwadde ekitanategereka wabula nga kyefaninyiriza ekya Kkolera kibaluseewo mu disitulikiti  ye Hoima nga kati 6 beebakafa.

Bbo mwenda  bali mu mbeera mbi mu ddwaliro ekkulu e Hoima.

Atwala eby’obulamu mu district eno  Fred Yenume agamba ekirwadde kino kyasookedde ku kyalo Kiyoola mu gombolola ye Bugambe.

Obumu ku bubonero bw’ekirwadde kino kuliko okuddukana, okusesema saako n’omubiri gwonna okunafuwa.

Yenume ategezezza nga bwebawandikidde dda ministry y’ebyobulamu ku mutawana guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *