Amawulire

obulwadde bw’okwenyika mu birowoozo bweyongedde

Ali Mivule

April 7th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye

Nga Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’ebyobulamu mu nsi yonna nga essira liri ku nsonga ya kwenyika mu birowoozo, minisitule y’ebyobulamu etegezezza nga embeera eno bwesinga mu bifo ewali entalo n’enjala.

Dr. Hafsa Lukwata akulira ebyokujanajaba obulwadde bw’emitwe mu minisitule y’ebyobulamu agamba ekibi tebalina ssente zakukola kunonyereza kumanyisa bantu bameka abakosebwa embeera eno.

Wabula atutegezezza nti abantu mu bukiika kkono bw’eggwanga abaakosebwa entalo ne Buduuda wamu nenjala gyegoyezza abaayo embeera eno ebali bubi.

Dr. Joyce Moriku Kaducu minisita omubeezi avunanyiaibwa ku bujanjabi obusokerwako agamba gavumenti ebakanye nekawefube wokutendeka abebyobulamu ku byalo okugiyambako okumanya abalina obubonero bwokwenyika mu birowoozo.

Ekitongole ky’eby’obulamu mu nsi yinna kyakola okunonyereza nekikizuula nti abantu abalina obulwadde bw’okwenyika mu birowoozo bwebali obukadde 350.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *