Amawulire

Obuganda bukungubagidde Mandela

Ali Mivule

December 9th, 2013

No comments

Katikiro wa Buganda Charlse Peter mayiga  yegasse kunsi yonna okulaga okunyorwa olw’okufa  kwomuduvau eyasooka okufuga ku gwanga lya South Aafrica Nelson Mandera.

Ono nga ayogerera mulukiiko lwa Buganda olukomekereza omwaka , owek mayiga agambye nti ono abakulembeze bonna mu Africa basaana bamuyigireko okulekalagana .

Katikiro agambye nti abakulembeze mu Africa kkone uganda basaana bayige nti okulekeragana kabonero kabugunjufu , era kyakulwanyisa ekimalawo obutakaanya .

Ono amwogedeko nga omukulembeze atazikawo, eyatuuka nokusonyiwa abamujoonyesa okumala emyaka 27 mu komera awataali musango