Amawulire

Obujanjabi bw’obwongo bwetaaga okubunyisa nemu malwaliro amalala

Ivan Ssenabulya

March 15th, 2022

No comments

Bya Prosy Kisakye

Abamu ku babaka ba palamenti, basabye nti obujanjabi bwobwongo butekebwe nemu malwaliro agobwananyini, mu kawefube wokubunyisa obujanajabi buno wonna.

Omulanga guno gukubiddwa omubaka wa munisipaali ye Koboko, Charles Ayume era ssentebbe wakakiiko ka palamenti akebyobulamu bweyabadde asisinkanye abatwala eddwaliro ekkulu erymitwe erya Butabika National Referral Mental Hospital.

Bano babadde bawayaamu okuwa endowooza yaabwe ku bbago erya Public Health Amendment Bill 2022.

Ayume yagambye nti tekiyambye okuba ngobujanajabi buno buli waggulu wokka, nga bwetaaga okuzza wansi mu mwaliro agenjawulo wakiiri nagali ku mutendera gwa Health Centre 4 nemu gobwananayini.

Akulira eddwaliro lye Butabika Dr. Juliet Nakku yayanirizza okuwabulwa kuno, era nagamba nti ddala obwetaavu webuli.