Amawulire

Obubizzi bwakyenvu bukomyewo mu kibuga

Ali Mivule

October 1st, 2014

No comments

Yellow pig Olive

 

Abantu 2 bakwatiddwa oluvanyuma lw’okusuula obubizzi 4 mu makkati g’oluguudo lwa Bombo Road.

Ababiri bano kuliko omusajja n’omukazi nga bateberezebwa okusuula obubizzi buno obusiigiddwa langi ya Kyenvu kumpi ne kanisa ya Watoto.

Akamu ku bubizzi buno kabadde kambaziddwa enkofiira wamu n’ebigambo  ebivumirira entujjo ya KCCA etegekeddwa ku wiikendi eno

Waliwo n’emmotoka  UAL 370S ekwatiddwa.

Gyebuvuddeko waliwo abavubuka babiri abaakwatibwa oluvanyuma lw’okusuula obubizzi ku palamenti nga balumiriza gavumenti obutalwanyisa nguzi mu ggwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *