Amawulire
Obubbi bw’eyongedde e Buvuma
Bya Ivan Ssenabulya
Abavubi be Bugaya, Lubya, Lyabaana, Bwema, Muwama, Samba, Ziru nebiznga ebiralala mu district ye Buvuma, bemulugunya ku bubbi obweyongedde ku Nyanja.
Bano bagamba nti bababbako amaato, yingini, ebyenyanja nobutimba, ekibaleka mu kufiirwa
Bano babadde mu lukiiko olutudde ku okutema empenda, kungeri yokuterezaamu ebyokwrinda.
Omubaka w’ekitundu kino mu palamenti Robert Migadde asabye gavumenti okuteeka poliisi y’okumazzi mu Buvuma okuyamba abavubi.
Wabula akulira ebikwekweto byamagye ku nyanja mu district ye Buvuma, Capt Steven Alituha agambye nti abavubi benyini beebba.