Amawulire

Obubbi bwa Pikipiki bw’eyongedde

Obubbi bwa Pikipiki bw’eyongedde

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2019

No comments

Bya Magembe Sabiiti, Ababuker Kirunda ne Sadat Mbogo

Obubbi nobubbi obukolebw kuba boda boda bulabika nga bweyongera buli olukya mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo.

Kati poliisi e Mubende eriko ababbi ba boda-boda 2 bekute abagambibwa okwenyigira mu kutta aba boda-boda.

Omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wabulijjo ku poliisi e Mubende Emmanuel Tulikumwe ategezezza ngabakwate bwekuliko Niwamanya God ow’emyaka 30 ne Mahanga Jackson owemyaka 31.

Agambye nti baludde nga batta ababodaboda.

Yye ssentebe waboda-boda mu district eno, Kafuuma Joseph atubulidde nti mu myezi 2 banabwe 9 batiddwa abalala 21 nebabuuka nebisago ebyamanyi.

Zzo pikipiki i 86 zezibbibwa.

Ate abantu 3 basimattuse okutibwa abatuuze mu gombolola ye Malongo mu district ye Mayuge, nga babadde babalumiroiza okubeera emabega wobubbi bw apikipiki.

Bano batasiddwa ssentebbe we gombolola eno Moses Lubanga, nabakwasa poliisi.

Bano kuliko Robert Mukuve, Kanene Tindya ne Zakayo Luwanda.

Bano babasanze ne pikipiki nga eyali yabbibwa okuva mu Richard Walwasa.

Mungeri yeemu Police mu district ey’e Mpigi erwanye butaweera okununula abagambibwa okubeera ababbi ba pikipiki ababadde bagenda okuttibwa aba bodaboda e Kayabwe n’e Buwama.

Bino bizzeewo oluvannyuma lwa police okukwata abasajja 2 abagambibwa nti beebasse omuvuzi wa bodaboda Ismah Ssekijoba omutuuze mu kabuga k’e Kayabwe, oluvannyuma omulambo gwe nebagusuula ku mabbali ge kkubo ku kyalo Ggolo mu gombolola y’e Nkozi.

Bano police ebakwatidde Butende mu bitundu by’e Masaka ne pikipiki egambibwa nti y’a mugenzi nga bajitwala okujitunda.

Bano batwaliddwa ku police ye Kayabwe era abagoba ba bodaboda bino olubagudde mu matu, nebazingako police nga baagala okujjayo ababbi bano okubekolerako.

Kati oluvanyuma babajeewo batwaliddwa ku poliisi ye Kanoni mu district y’e Gomba gyebakumibwa.

Ate police mu kabuga k’e Buwama etaasizza makanika Katongole agambibwa nti abadde ne banne abalala babiri abadduse, bwebasangiddwa nga bagezaako okuggya piki ku mutuuze ategeerekese nga Kammonde okujibba.

Albert Natumanya atwala police yeeno atubuulidde nti Katongole ne banne babadde bakoze ebisumuluzo ebyakazibwako erya master key okusumulula piki zabantu.

Poliisi etubuulidde nti Katongole kati akuumibwa mu kaduukulu ka police e Buwama nga banne bwebayiggibwa.

Ebyo nga bikyali awo, waliwo abadde abba pikipiki mu town council y’e Gombe mu district y’e Butambala akwatiddwa abatuuze nebamukumako omuliro  nebamwoca era omulambo gwe mu kiseera kino gukuumibwa mu gwanika ly’eddwaliro e Gombe nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.