Amawulire

Obua awolereza baminisita ku mivuyo gyámabaati gé Karamoja

Obua awolereza baminisita ku mivuyo gyámabaati gé Karamoja

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Nampala wa gavumenti, Hamson Dennis Obua awolerezza baminisita abanokolwayo mu mivuyo gyokweza amabaati agaali gagendereddwamu okuyamba abantu b’e Karamoja.

Baminisita abali mu mivuyo gino kuliko mulimu ne Hamson Obua yennyini, minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija, n’abamyuka be Amos Lugoloobi, ne Henry Musasizi, minisita w’ensonga z’e Karamoja Mary Gorret Kitutu n’omumyuka we Agnes Nandutu, minisita w’ebyokwerinda Jacob Oboth-Oboth, Minisita w’ebyenjigiriza bya pulayimale Moriku Kaducu n’abalala.

Bwebadde asisinkanye ekibiina ekigatta bannamawulire mu palamenti ekya Uganda Parliamentary Press Association ku palamenti, Obua agambye nti kikyamu bannayuganda okuvumirira baminisita abaaweebwa amabaati nga tebamanyi nti gaali galina kugenda Karamoja.

Yalaajanidde Bannayuganda okulinda okunoonyereza ku nsonga eno balyoke bogere ebisongovu.